2 Samwiri 15:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi[a] Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.
Read full chapterFootnotes
- 15:12 Akisoferi ye yali jjajja omusajja owa Basuseba (11:3; 23:34)
2 Samwiri 16:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.
Read full chapter
2 Bassekabaka 20:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okulwala kwa Keezeekiya
20 Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”
Read full chapter
Matayo 27:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza n’aziyiwa mu Yeekaalu n’afuluma n’agenda yeetuga!
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.