2 Ebyomumirembe 20:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.”
Read full chapter
Isaaya 8:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Kubanga abantu bano bagaanye
amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola,[a]
ne bajaguza olwa Lezini
ne mutabani wa Lemaliya,
7 (B)kale nno Mukama anaatera okubaleetako
amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
ne ganjaala ku ttale lyonna.
8 (C)Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
ggwe Emmanweri.”
Footnotes
- 8:6 Amazzi agoogerebwako wano ge mazzi agava mu Gikoni (2By 32:4-30) agakozesebwa wakati mu kibuga Yerusaalemi
Isaaya 30:12-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Olw’okugaana obubaka buno,
ne mwesiga okunyigirizibwa,
ne mwesiga omulimba,
13 (B)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (C)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.