2 Bassekabaka 9:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa.
Read full chapter
1 Bassekabaka 18:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 Mukama wange totegeezebwanga, kye nakola nga Yezeberi atta bannabbi ba Mukama? Nakweka kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, era ne mbawa emigaati okulya n’amazzi okunywa.
Read full chapter
Isaaya 16:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)“Tuwe ku magezi,
tubuulire, tukole tutya?
Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze
wakati mu ttuntu,
Abajja bagobebwa mubakweke,
abajja badaaga temubalyamu lukwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.