2 Bassekabaka 24:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya.
Read full chapter
Yeremiya 27:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yuda Alibeera Muddu wa Nebukadduneeza
27 (A)Ku ntandikwa y’obufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri Mukama:
Read full chapter
Yeremiya 28:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Kananiya Nnabbi ow’Obulimba
28 (A)Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.