1 Bassekabaka 8:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino.
Read full chapter
Zabbuli 5:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
Zabbuli 28:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
Isaaya 42:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe
okukuza amateeka ge
n’okugassaamu ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.