1 Bassekabaka 18:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Simanyi Mwoyo wa Mukama gy’anaakutwala nga kyenzije nveewo. Bwe nnaagenda ne ntegeeza Akabu n’atakusangawo, ajja kunzita, ate nga nze omuddu wo okuva mu buto bwange, nsinza Mukama.
Read full chapter
2 Bassekabaka 2:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”
Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”
Read full chapter
Ezeekyeri 3:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.”
Read full chapter
Ezeekyeri 3:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze.
Read full chapter
Ezeekyeri 8:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya.
Read full chapter
Ezeekyeri 11:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango
11 (A)Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu.
Read full chapter
Ezeekyeri 11:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa.
Read full chapter
Ezeekyeri 43:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.
Read full chapter
2 Abakkolinso 12:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi n’ena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ng’ali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.